70 | GEN 3:14 | Mukama Katonda n’agamba omusota nti, Kubanga okoze kino okolimiddwa okukira ensolo zonna ez’awaka n’ez’omu nsiko, oneekululiranga ku lubuto lwo era onoolyanga nfuufu ennaku zonna ez’obulamu bwo. |
102 | GEN 4:22 | Zira n’azaala Tubalukayini omuweesi w’eby’ekikomo n’eby’ekyuma. Ne mwannyina wa Tubalukayini nga ye Naama. |
147 | GEN 6:9 | Bino bye bifa ku Nuuwa n’ab’omu nju ye: Nuuwa yali muntu mutuukirivu, nga taliiko kya kunenyezebwa mu bantu b’ekiseera kye, n’atambula ne Katonda. |
181 | GEN 7:21 | Buli kiramu ekyali ku nsi ne kifa: ebinyonyi n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko, n’ebitonde byonna ebyali ku nsi n’abantu bonna. |
185 | GEN 8:1 | Katonda n’ajjukira Nuuwa n’ensolo zonna ez’awaka n’ez’omu nsiko ezaali naye mu lyato, n’asindika empewo ku nsi, amazzi ne gakendeera; |
211 | GEN 9:5 | Era ndivunaana ayiwa omusaayi gwammwe ne nvunaana n’omuntu olw’omusaayi gw’ensolo ne muvunaana n’olw’omusaayi gwa muntu munne. |
216 | GEN 9:10 | era na buli kitonde ekiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko zonna, ne byonna bye muvudde nabyo mu lyato, ne buli kitonde kyonna ku nsi. |
218 | GEN 9:12 | Katonda n’agamba nti, “Kano ke kabonero ke nteeka wakati wange nammwe, na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe, era n’ab’emirembe egiriddawo. |
324 | GEN 13:5 | Ne Lutti eyagenda ne Ibulaamu naye yalina ebisibo by’endiga n’amagana g’ente n’ab’enju ye nga bangi, |
472 | GEN 19:14 | Awo Lutti n’afuluma n’ategeeza bakoddomi be abaali ab’okuwasa bawala be ng’agamba nti, “Musituke, muve mu kifo kino, kubanga Mukama ali kumpi kukizikiriza.” Naye yafaanana ng’abalaata eri bakoddomi be. Lutti n’ab’ennyumba ye ne badduka. |
514 | GEN 20:18 | Kubanga Mukama yali aggalidde embuto z’ab’omu nnyumba y’Abimereki olwa Saala mukazi wa Ibulayimu. |
526 | GEN 21:12 | Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Tonakuwala olw’omulenzi n’olw’omuweereza wo omukazi, buli Saala ky’akugamba kikole; kubanga mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza. |
868 | GEN 30:37 | Awo Yakobo n’addira obuti bw’omulibine omubisi, n’obw’omusakedi, n’obw’omwalamoni n’abususumbulako ebikuta mu bukuubo. |
1233 | GEN 41:37 | Ebigambo bya Yusufu ne biwulikika bulungi mu matu ga Falaawo n’ag’abaweereza be bonna. |
1418 | GEN 46:31 | Yusufu n’agamba baganda be n’ab’ennyumba ya kitaawe nti, “Nzija kugenda eri Falaawo mugambe nti, ‘Baganda bange n’ennyumba ya kitange abaali mu nsi ya Kanani bazze gye ndi. |
1433 | GEN 47:12 | Yusufu n’awa kitaawe ne baganda be n’ab’ennyumba ya kitaawe emmere ng’omuwendo gw’abaana baabwe bwe gwali. |
1445 | GEN 47:24 | Bwe mulikungula, muliwa Falaawo ekitundu kimu kyakutaano, ebitundu bina bya kutaano biriba byammwe, okuba ensigo mu nnimiro zammwe, n’emmere ku lwammwe n’ab’ennyumba zammwe n’abaana bammwe.” |
1515 | GEN 50:8 | n’ab’ennyumba ya Yusufu, ne baganda be, n’ab’ennyumba ya kitaawe. Abaana bokka be baasigala mu Goseni n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe. |
1534 | EXO 1:1 | Gano ge mannya ga batabani ba Isirayiri, era ye Yakobo, abajja naye mu Misiri; buli omu n’ab’omu nnyumba ye: |
1821 | EXO 12:4 | Singa amaka gabaamu abantu batono nnyo abatamalaawo mwana gwa ndiga, amaka ago geegatte n’ag’omuliraano balye omwana gw’endiga ogwo. Muligeraageranya obungi bw’abantu abamalawo omwana gw’endiga nga musinziira ku ndya ya buli omu mu maka omwo. |
1826 | EXO 12:9 | Tewabanga ku nnyama eyo gye mulya nga mbisi obanga efumbwa mu mazzi; wabula mugyokyanga ku muliro: omutwe, amagulu n’eby’omunda byonna. |
1834 | EXO 12:17 | “Mukwatanga Embaga ey’Emigati Egitali mizimbulukuse, kubanga ku lunaku luno lwennyini kwe naggyira ebika bya Isirayiri mu nsi y’e Misiri. Noolwekyo olunaku luno munaalukwatanga n’ab’omu mirembe gyonna egiriddawo. Ekyo kiragiro eky’emirembe n’emirembe. |
1953 | EXO 16:5 | Ku lunaku olw’omukaaga bwe banaabanga bakuŋŋaanya emmere ey’olunaku olwo, bakuŋŋaanyanga eyenkanaankana n’ey’ennaku bbiri.” |
1991 | EXO 17:7 | Ekifo ekyo n’akituuma erinnya Masa ne Meriba, olw’okuyomba kw’abaana ba Isirayiri, n’olw’okugezesa Mukama nga bagamba nti, “Mukama waali mu ffe oba taliiwo?” |
2131 | EXO 22:16 | Naye singa kitaawe w’omuwala agaanira ddala okumumuwa, era asasulangayo omuwendo gw’ensimbi ogwenkanankana n’eby’obuko ebiweebwayo ku mbeerera. |
2292 | EXO 27:19 | Ebintu ebirala byonna ebinaakozesebwa ku mirimu gya Weema egya buli ngeri, ng’otaddeko n’obukondo obukomerera Weema n’obw’omu luggya, byonna bibeera bya kikomo. |
2301 | EXO 28:7 | Ebeere n’eby’okubibegabega bibiri nga bitungiddwa w’ekoma, eryoke egattibwe bulungi. |
2309 | EXO 28:15 | “Kola ekyomukifuba eky’okutereezanga ensonga, nga mulimu gwa kikugu ng’ogw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ewuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu omulange. |
2318 | EXO 28:24 | Oyise enjegere ebbiri eza zaabu mu mpeta ebbiri eziri ku mikugiro gy’eky’omu kifuba. |
2319 | EXO 28:25 | Oddire enjuuyi ebbiri ezisigaddewo ez’enjegere ozikwasize ku fuleemu ebbiri, ozinywereze mu maaso g’eby’oku bibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. |
2320 | EXO 28:26 | Era okole empeta bbiri eza zaabu, ozitunge ku mikugiro gy’eky’omu kifuba ku luuyi olw’omunda oluliraanye ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. |
2321 | EXO 28:27 | Era okole empeta bbiri eza zaabu oziteeke mu maaso, mu bitundu ebya wansi eby’eby’okubibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, wagguluko okumpi n’oluzizi lw’omusipi olw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. |
2333 | EXO 28:39 | “Luka ekkooti erimu obusaze obw’obusimba n’obw’obukiika mu wuzi eza linena omulebevu, era okole n’ekitambaala eky’oku mutwe mu linena omulebevu, era okole olukoba ng’olutunzeemu amajjolobera. |
2550 | EXO 35:18 | enkondo z’eweema n’ez’omu luggya n’emiguwa gyazo; |
2553 | EXO 35:21 | Buli eyayagala, era ng’omwoyo gwe bwe gwamukubiriza, n’awaayo eri Mukama eby’okukozesa Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ebikozesebwamu byonna, n’eby’okukozesa ebyambalo ebitukuvu. |
2565 | EXO 35:33 | era n’ag’okusalwa mu mayinja ag’okutona, era n’ag’okwolebwa mu miti, n’okukola buli ngeri yonna ey’amagezi. |
2673 | EXO 39:8 | Ne bakola ekyomukifuba, nga mulimu gwa kikugu ng’ogw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, mu wuzi za zaabu, ne bbululu, ne kakobe ne myufu ne linena omulebevu omulange. |
2682 | EXO 39:17 | Ne bayisa enjegere ebbiri mu mpeta ebbiri ezaali ku mikugiro gy’eky’omu kifuba. |
2683 | EXO 39:18 | Ne baddira enjuuyi ebbiri ezaasigalawo ez’enjegere ne bazikwasiza ku fuleemu ebbiri, ne bazinywereza mu maaso g’eby’okubibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi. |
2685 | EXO 39:20 | Ne bakolayo empeta endala bbiri eza zaabu ne baziteeka mu maaso mu bitundu byombi ebya wansi eby’eby’okubibegabega eby’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi, wagguluko okumpi n’oluzizi lw’omusipi lw’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi. |
2807 | LEV 4:11 | Naye eddiba lya sseddume eyo n’ennyama yaayo yonna, n’omutwe gwayo, n’amagulu gaayo, n’eby’omu nda byayo nga n’ebyenda kwebiri, awamu n’obusa bwayo, |
3007 | LEV 11:9 | “Ku biramu ebiri mu mazzi ag’omu nnyanja n’ag’omu migga mulyangako ebyo ebirina amatu awamu n’amagagamba ku mubiri gwabyo. |
3208 | LEV 16:6 | “Alooni anaawangayo ennyana ennume nga ya kiweebwayo kye olw’ekibi alyoke yeetangiririre awamu n’ab’omu maka ge. |
3213 | LEV 16:11 | “Alooni anaawangayo ennyana eyo ennume nga ya kiweebwayo kye olw’ekibi, alyoke yeetangiririre awamu n’ab’omu maka ge; ennyana eyo ennume anaagittanga nga kye kiweebwayo kye olw’ekibi. |
3218 | LEV 16:16 | Mu ngeri eyo anaatangiririranga Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo olw’obutali bulongoofu n’obujeemu eby’abaana ba Isirayiri, n’olw’ebyonoono byabwe ebirala byonna nga bwe byali. Era anaakolanga bw’atyo ne ku Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu eri mu bo wakati mu butali bulongoofu bwabwe. |
3219 | LEV 16:17 | Mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu temuubengamu muntu n’omu Alooni bw’anaayingirangamu okutangiririra Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo, okutuusa lw’anaafulumanga ng’amaze okwetangiririra awamu n’ab’omu maka ge, n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri. |
3255 | LEV 18:3 | Temusaana kweyisanga mu bikolwa byammwe ng’ab’omu Misiri, gye mwabeeranga, bwe beeyisa, era temusaana kweyisanga ng’ab’omu Kanani, gye mbatwala, bwe beeyisa. Temutambuliranga mu mateeka gaabwe. |
3269 | LEV 18:17 | “ ‘Teweebakanga na mukazi ate ne muwala we n’okola nabo ebyensonyi. Era teweebakanga na mwana muwala owa mutabani wa mukazi oyo oba na mwana muwala owa muwala we; kubanga abo ba musaayi gwe gumu n’ogw’omukazi oyo. Ekyo kibi kinene. |
3335 | LEV 20:16 | “ ‘Omukazi bw’anaasembereranga ensolo alyoke akole nayo eby’ensonyi, mumuttanga n’ensolo ne mugitta. Omukazi anattibwanga n’ensolo nettibwa; omusaayi gw’omukazi gunaabanga ku mutwe gwe, n’ogw’ensolo gunaabanga ku mutwe gwayo. |
3444 | LEV 23:41 | Mukolanga bwe mutyo ng’ekyo kye kijaguzo eri Mukama Katonda, okumala ennaku musanvu buli mwaka. Lino ly’etteeka ery’enkalakkalira erinaakwatibwanga n’ab’omu mirembe egigenda okujja; mujaguzenga mu mwezi ogw’omusanvu. |
3501 | LEV 25:31 | Naye amayumba ag’omu bubuga obutono obw’omu byalo obuteetooloddwako bisenge, ganaabalirwanga mu ttuluba lye limu n’ery’ennimiro eziri mu byalo. Ganaanunulibwanga era ne gaddira bannyinigo mu Jjubiri. |
3564 | LEV 26:39 | N’abo ku mmwe abanaabanga basigaddewo banaakoozimbiranga mu nsi z’abalabe bammwe olw’ebibi byabwe, era balikoozimba n’olw’ebibi bya bakitaabwe. |
3603 | LEV 27:32 | Ebitundu eby’ekkumi byonna ebyamagana g’ente n’eby’ebisibo by’endiga, kwe kugamba nti buli nsolo omusumba gy’anaabalanga nga ya kkumi, eneebanga ntukuvu eri Mukama Katonda. |
3625 | NUM 1:20 | Ab’omu bazzukulu ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. |
3627 | NUM 1:22 | Ab’omu bazzukulu ba Simyoni: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. |
3629 | NUM 1:24 | Ab’omu bazzukulu ba Gaadi: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe, n’eby’empya zaabwe bwe byali. |
3631 | NUM 1:26 | Ab’omu bazzukulu ba Yuda: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. |
3633 | NUM 1:28 | Ab’omu bazzukulu ba Isakaali: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe, kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. |
3635 | NUM 1:30 | Ab’omu bazzukulu ba Zebbulooni: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. |
3637 | NUM 1:32 | Okuva mu batabani ba Yusufu: Ab’omu bazzukulu ba Efulayimu Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. |
3639 | NUM 1:34 | Ab’omu bazzukulu ba Manase: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. |
3641 | NUM 1:36 | Ab’omu bazzukulu ba Benyamini: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. |
3643 | NUM 1:38 | Ab’omu bazzukulu ba Ddaani: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. |
3645 | NUM 1:40 | Ab’omu bazzukulu ba Aseri: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. |
3647 | NUM 1:42 | Ab’omu bazzukulu ba Nafutaali: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. |
3936 | NUM 7:85 | Buli sowaani eya ffeeza ng’epima obuzito bwa kilo emu n’ekitundu, na buli kibya omubeera eby’okumansira nga kipima obuzito bwa butundu bwa kilo, munaana. Okugatta awamu obuzito bw’essowaani ezo zonna n’obw’ebibya ebyo byonna bwali bupima kilo amakumi abiri mu munaana ng’ebipimo by’awatukuvu bwe byali. |
4072 | NUM 12:12 | Tomuleka omubiri gwe okufaanana ng’ogw’omwana omuwere azaalibwa ng’ali ng’afudde, ng’omubiri gwe guweddemu ensa.” |
4259 | NUM 18:1 | Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, “Ggwe, ne batabani bo, n’ab’omu kika kyo bonna, mmwe munaavunaanyizibwanga olw’emisango eginazzibwanga ku watukuvu; era ggwe ne batabani bo mwekka mmwe muneetikkanga obuvunaanyizibwa ku misango eginazzibwanga ku bwakabona. |
4265 | NUM 18:7 | Naye ggwe ne batabani bo mwekka mmwe munaakolanga emirimu gyonna egy’obwakabona bwammwe egikwata ku kyoto n’egy’omunda w’eggigi. Obuweereza obw’Obwakabona mbubawadde ng’ekirabo. Omuntu yenna omulala anaasemberanga okumpi n’awatukuvu, anaafanga.” |
4289 | NUM 18:31 | Mmwe n’ab’omu maka gammwe munaayinzanga okubiriira wonna we munaayagalanga, kubanga eneebeeranga mpeera yammwe olw’omulimu gwe munaakolanga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. |
4558 | NUM 27:2 | Lwali lumu, ne bajja okumpi n’omulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bayimirira mu maaso ga Musa ne Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’abakulembeze n’ag’ekibiina kyonna, ne bagamba nti, |
4704 | NUM 31:38 | Ente, emitwalo esatu mu kakaaga (36,000), ng’ez’omusolo gwa Mukama Katonda nsanvu mu bbiri (72). |
4705 | NUM 31:39 | Endogoyi, emitwalo esatu mu bitaano (30,500), ng’ez’omusolo gwa Mukama Katonda zaali nkaaga mu emu (61). |
4706 | NUM 31:40 | Abantu omutwalo gumu mu kakaaga (16,000); ng’ab’omusolo gwa Mukama Katonda baali amakumi asatu mu babiri (32). |
4829 | NUM 34:11 | Ensalo n’eserengeta okuva e Sefamu okutuuka e Libula ku ludda olw’ebuvanjuba bwa Yaini, n’ebalama amabbali g’ensozi ku ludda olw’ebuvanjuba bw’Ennyanja y’e Kinneresi, y’ey’e Ggaliraaya. |
4832 | NUM 34:14 | kubanga ab’empya z’ekika kya Gaadi n’ekya Lewubeeni, n’ab’empya z’ekitundu ky’ekika kya Manase, baamala okugabana obutaka bwabwe. |
4855 | NUM 35:8 | Omuwendo gw’ebibuga bye muligabira Abaleevi gulyesigamizibwa ku bunene n’obutono obwa buli busika obw’abaana ba Isirayiri. Ab’obusika obunene muliwaayo ebibuga bingi, n’ab’obusika obutono muliwaayo ebibuga bitono.” |
4885 | NUM 36:4 | Awo Omwaka gwa Jjubiri ogw’abaana ba Isirayiri bwe gunaatuukanga, ebyobusika byabwe bigenda kugattibwanga ku bw’ebika abawala abo gye banaabanga bafumbiddwa, n’eby’obutaka bwabwe nga bitoolebwa ku butaka obwa bajjajjaffe obw’ensikirano.” |
5110 | DEU 6:22 | Mukama Katonda n’alaga obubonero obw’ekitalo, n’akola ebyamagero ebinene era ebitatendeka ku Misiri ne ku Falaawo n’ab’omu maka ge bonna, nga naffe tulaba. |
5216 | DEU 11:6 | era ne kye yakola Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, mutabani wa Lewubeeni, ettaka bwe lyayasamya akamwa kaalyo, wakati mu baana ba Isirayiri bonna, ne libamira n’ab’omu maka gaabwe bonna, n’eweema ez’ensiisira zaabwe zonna, ne buli kiramu kyabwe kyonna kye baalinako obwannannyini. |
5248 | DEU 12:6 | awo we munaaleetanga ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ne biweebwayo ebirala, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n’ebirabo eby’enjawulo, n’obweyamo bwammwe, n’ebiweebwayo ebya kyeyagalire, n’ebibereberye eby’omu bisibo byammwe n’eby’omu biraalo byammwe. |
5249 | DEU 12:7 | Mmwe n’ab’omu nnyumba zammwe munaaliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, munaasanyukanga ne mwenyumirizanga mu buli kintu kyonna kye munaabanga mukoze n’emikono gyammwe, kubanga Mukama Katonda wo anaabanga akuwadde omukisa. |
5259 | DEU 12:17 | Mu bibuga byo toliirangamu kitundu ekimu eky’ekkumi eky’emmere yo ey’empeke, oba ekya wayini wo, oba eky’amafuta go; oba ebibereberye eby’omu bisibo byo n’eby’omu biraalo byo, oba n’obweyamo bwo oba n’ebiweebwayo ebya kyeyagalire; wadde n’ebirabo ebitali bya bulijjo. |
5305 | DEU 14:13 | wonzi, eddiirawamu, kamunye n’ez’ekika kye, |
5315 | DEU 14:23 | Onoolyanga ekitundu eky’ekkumi eky’emmere y’empeke, n’ekya wayini omusu, n’eky’amafuta, n’eky’ebibereberye eby’ebisibo byo n’eby’amagana go. Onookiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky’anaabanga yeerondedde eky’okubeerangamu Erinnya lye, olyokenga oyige okutyanga Mukama Katonda wo bulijjo. |
5318 | DEU 14:26 | Ensimbi ezo onoozeegulirangamu ekintu kyonna ky’onooyagalanga: gamba ente, oba endiga, oba envinnyo, oba ekyokunywa ekitamiiza, oba ekintu kyonna ky’onooyagalanga. Ggwe awamu n’ab’omu maka go bonna munaaliiranga awo mu maaso ga Mukama Katonda wo nga musanyuka. |
5341 | DEU 15:20 | Ebibereberye ebyo onoobiryanga buli mwaka, buli mwaka, ggwe n’ab’omu nju yo bonna, nga mubiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo Mukama ky’anaabanga yeerondedde. |
5389 | DEU 18:3 | Bino bakabona bye banaagabananga ku biweebwayo eby’ente za sseddume n’endiga abantu bye banaabanga baleese: bakabona banaafunangako omukono n’emba zombi, n’eby’omu lubuto. |
5481 | DEU 22:9 | Wakati w’ennyiriri z’emizabbibu temusimbangamu mmere ya ngeri ndala, bwe munaakikolanga, ebibala by’emizabbibu n’eby’emmere gye munaabanga musimbyemu, byombi munaabifiirwanga. |
5498 | DEU 22:26 | Omuwala oyo temumukolangako kintu kyonna, kubanga anaabanga talina kibi kyonna ky’akoze ekinaamusaanyizanga okufa. Ensonga ezo zifaanana ng’ez’omuntu anaabanga alumbaganye muliraanwa we n’amutemula. |
5796 | DEU 32:36 | Mukama Katonda alisalira abantu omusango mu bwenkanya, alisaasira abaweereza be, bw’aliraba ng’amaanyi gonna gabaweddemu, omuddu n’ow’eddembe nga tewasigadde n’omu. |
5802 | DEU 32:42 | Obusaale bwange ndibutamiiza omusaayi, n’ekitala kyange kirirya ennyama, n’omusaayi gw’abattiddwa n’abawambiddwa, n’ogw’emitwe egy’abakulembeze b’abalabe. |
5853 | DEU 34:12 | era n’olw’ekitiibwa kye eky’amaanyi amangi, n’obuyinza obw’entiisa bwe yayoleka mu Isirayiri yenna. |
5865 | JOS 1:12 | Yoswa n’agamba ab’ekika kya Lewubeeni, n’ab’ekika kya Gaadi n’ekitundu ky’ekika kya Manase nti, |
5889 | JOS 2:18 | era bwe tulitabaala ensi yammwe, osibanga omuguwa guno omumyufu mu ddirisa mwe watuyisa era okuŋŋaanyizanga mu nnyumba yo, kitaawo, ne nnyoko, bannyoko n’ab’omu nnyumba ya kitaawo bonna. |
5970 | JOS 6:19 | Kyokka ffeeza ne zaabu n’ebintu byonna eby’ekikomo n’eby’ekyuma bitukuvu eri Mukama era byakutereka mu ggwanika lya Mukama.” |
5975 | JOS 6:24 | Awo ne balyoka bookya ekibuga ne bazikiriza byonna ebyakirimu okuggyako ffeeza, zaabu n’ebintu eby’ekikomo n’eby’ekyuma bye baggyamu ne babitereka mu ggwanika ly’omu nnyumba ya Mukama. |
5976 | JOS 6:25 | Yoswa n’alekawo Lakabu malaaya n’ab’ennyumba ye era Lakabu n’abeera mu Isirayiri n’okutuusa kaakano kubanga yakweka abakessi Yoswa be yatuma okuketta ekibuga Yeriko. |
6071 | JOS 10:5 | Bwe batyo bakabaka abataano Abamoli, n’ow’e Yerusaalemi, n’ow’e Kebbulooni, n’ow’e Yalamusi, n’ow’e Lakisi n’owe Eguloni ne beekobaana ne bayungula amaggye gaabwe ne bagakuluumulula ne balumba Gibyoni. |
6089 | JOS 10:23 | Ne bakola nga bwalagidde ne bamuleetera kabaka w’e Yerusaalemi, n’ow’e Kebbulooni, n’ow’e Yalamusi, n’ow’e Lakisi n’ow’e Eguloni. |