366 | GEN 15:5 | N’amufulumya ebweru n’amugamba nti, “Tunuulira eggulu, obale emunyeenye, obanga osobola okuzibala.” Awo n’amugamba nti, “N’ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.” |
445 | GEN 18:20 | Awo Mukama n’agamba nti, “Olw’okunkaabirira okusukkiridde olw’ebibi bya Sodomu ne Ggomola ebingi ennyo, |
611 | GEN 24:19 | Bwe yamala okumuwa amazzi, n’amugamba nti, “N’eŋŋamira zo nazo nnaazisenera amazzi okutuusa lwe zinaamala okunywa.” |
811 | GEN 29:15 | Awo Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Olw’okubanga oli waluganda ky’onoova ompeerereza obwereere? Ntegeeza empeera yo bw’eneebanga.” |
1169 | GEN 39:19 | Awo mukama wa Yusufu bwe yawulira ebigambo omukazi bye yamutegeeza ng’agamba nti, “Bw’ati ne bw’ati omuddu wo bwe yampisizza,” obusungu bwa bba ne bubuubuuka. |
1346 | GEN 44:21 | “N’olyoka ogamba abaddu bo nti, ‘Mumundeetere, mmulabeko.’ |
1594 | EXO 3:14 | Katonda n’agamba Musa nti, “Ndi nga bwe Ndi,” n’ayongera nti, “Bw’otyo bw’onootegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Ndi y’antumye gye muli.’ ” |
1607 | EXO 4:5 | Mukama n’amugamba nti, “Bw’olikola bw’otyo bagenda kukukkiriza, era balitegeera nga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, yakulabikira.” |
1623 | EXO 4:21 | Mukama n’agamba Musa nti, “Bw’oddangayo e Misiri, okoleranga ebyamagero ebyo byonna bye nkulaze, awali Falaawo. Nze ndikakanyaza omutima gwe, abantu bange aleme okubakkiriza okugenda. |
2017 | EXO 18:17 | Mukoddomi wa Musa n’amugamba nti, “Ky’okola si kirungi. |
2074 | EXO 20:22 | Mukama n’agamba Musa nti, “Bw’oti bw’oba otegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Mmwe bennyini mwerabiddeko nga njogera nammwe nga nsinziira mu ggulu. |
2080 | EXO 21:2 | “Bw’ogulanga omuddu Omwebbulaniya, akuweererezanga emyaka mukaaga. Mu mwaka ogw’omusanvu omuddizanga eddembe lye n’agenda, era talisasuliranga. |
2139 | EXO 22:24 | “Bw’owolanga ensimbi omu ku bantu bange abali mu mmwe, ng’ali mu kwetaaga, teweeyisanga ng’abawozi b’ensimbi abalala; tomusasuzanga magoba. |
2149 | EXO 23:4 | “Bw’osanganga ente y’omulabe wo, oba endogoyi ye, ng’ebuzze ogimuddizangayo eka. |
2395 | EXO 30:12 | “Bw’onoobalanga abaana ba Isirayiri, buli gw’onoobalanga anaasasulanga omuwendo eri Mukama olw’okununula obulamu bwe mu kiseera mw’abaliddwa, kawumpuli aleme okubagwamu. |
2466 | EXO 32:27 | N’abagamba nti, “Bw’ati Mukama Katonda wa Isirayiri bw’ayogera nti, ‘Buli musajja yeesibe ekitala kye mu kiwato kye, muyiteeyite mu nsiisira okuva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala, nga buli musajja atta muganda we ne mukwano gwe, ne muliraanwa we.’ ” |
3291 | LEV 19:9 | “Bw’okungulanga ekyengera eky’omu ttaka lyo, tokunguliranga ddala ebibala byonna eby’omu nnimiro yo okutuuka ku nkomerero zaayo, oba okukuŋŋaanya obubala obutonotono obunaabanga bugudde wansi ng’okungula. |
3524 | LEV 25:54 | “Bw’anaabanga tanunulibbwa mu zimu ku ngeri ezo, ye n’abaana be banaanunulibwanga mu Mwaka gwa Jjubiri. |
3552 | LEV 26:27 | “N’ebyo byonna bwe binaalemanga okukyusa emitima gyammwe okumpulira, naye ne mweyongera okunjeemeranga; |
3654 | NUM 1:49 | “Ab’omu kika kya Leevi tababalanga wadde okubagatta awamu n’emiwendo gy’abaana ba Isirayiri abalala.” |
3954 | NUM 8:14 | “Bw’otyo bw’onooyawula Abaleevi okuva mu baana ba Isirayiri, era Abaleevi banaabanga bange. |
4343 | NUM 21:2 | Awo Isirayiri ne yeeyama eri Mukama Katonda obweyamo buno nti, “Bw’onoogabula abantu bano mu mukono gwaffe, ne tubawangula, ebibuga byabwe tulibizikiririza ddala.” |
4392 | NUM 22:16 | Ne bajja eri Balamu ne bamugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Balaki mutabani wa Zipoli nti, ‘Nkwegayiridde, tokkiriza kintu kyonna kukuziyiza kujja gye ndi; |
4656 | NUM 30:7 | “Bw’anaafumbirwanga ng’amaze okweyama ng’awaddeyo n’ebisuubizo nga tamaze kwerowooza, |
5031 | DEU 4:25 | “Bw’olimala okuzaala abaana ng’ofunye n’abazzukulu, era nga mu nsi omwo mumazeemu emyaka mingi nga mukaddiye; ne mugenda mweyonoonanga nga mwekolera bakatonda abalala ab’engeri zonna, ne mukolanga ebibi mu maaso ga Mukama Katonda wo ne mumusunguwazanga, |
5272 | DEU 12:30 | era ng’amawanga ago gamaze okuzikirizibwa nga naawe olaba, weekuumanga n’otabuuliriza ku bya bakatonda baabwe ng’ogamba nti, “Ab’omu mawanga ago baasinzanga batya bakatonda baabwe, nange njagala nkole bwe ntyo?” |
5511 | DEU 23:10 | “Bw’onoogendanga okutabaala abalabe bo weewalenga obutali bulongoofu mu lusiisira lwammwe. |
5523 | DEU 23:22 | “Bw’oneeyamanga obweyamo eri Mukama tolwangawo kubutuukiriza, kubanga ddala ddala Mukama Katonda wo agenda kukikulagira olyoke weewonye omusango olw’ekibi ekyo. |
5526 | DEU 23:25 | “Bw’onooyingiranga mu nnimiro ya munno ey’emizabbibu, onooyinzanga okwenogeranga ku birimba by’emizabbibu n’olya nga bw’oneetaaganga n’okkuta, naye tossangako mu kibbo okwetwalirako eka. |
6162 | JOS 13:6 | “N’abantu bonna ab’omu nsozi za Lebanooni okutuuka ku Misurefosumayima, be Basidoni bonna; nze kennyini ndibagoba mbaggye mu maaso g’abaana ba Isirayiri. Kakasa nti ensi eno ogigabira abaana ba Isirayiri nga bwe nakulagira. |
6480 | JOS 24:2 | Yoswa n’agamba abantu bonna nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Edda ennyo bajjajjammwe nga mulimu ne Teera kitaawe wa Ibulayimu baabeeranga emitala w’omugga Fulaati, gye basinzizanga bakatonda abalala. |
6567 | JDG 2:20 | Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri n’agamba nti, “Olw’okuba nga abantu bano bamenye endagaano gye nalagaana ne bajjajjaabwe, so tebagondedde ddoboozi lyange, |
6861 | JDG 11:30 | Yefusa ne yeeyama eri Mukama Katonda ng’agamba nti, “Bw’onogabula abaana ba Amoni mu mukono gwange, |
6938 | JDG 15:7 | Samusooni n’abagamba nti, “Olw’okuba nga mweyisizza bwe mutyo, sirirekayo okuggyako nga mbawalanyeeko eggwanga.” |
6964 | JDG 16:13 | Awo Derira n’agamba Samusooni nti, “Okutuusa kaakano onduulidde era onnimbye. Mbuulira ekiyinza okukusiba.” N’amugamba nti, “Bw’onooluka emivumbo musanvu egiri ku mutwe gwange, n’engoye, n’obinyweza nzija kunafuwa, mbeere ng’omuntu omulala yenna.” N’aluka emivumbo omusanvu egy’ali ku mutwe gwe, n’engoye, |
7161 | RUT 2:10 | Awo Luusi bwe yawulira ebyo, n’avuunama ku ttaka, ng’agamba nti, “Ng’ondaze ekisa mu maaso go, n’onfaako nze, munnaggwanga.” |
7162 | RUT 2:11 | Naye Bowaazi n’addamu nti, “By’okoledde nnyazaala wo kasookedde balo afa, ne bwe waleka kitaawo ne nnyoko era n’abantu bo n’ojja mu nsi ey’abantu botomanyi, babintegezezza byonna. |
7172 | RUT 2:21 | Luusi Omumowaabu n’ayongerako nti, “N’okuŋŋamba yaŋŋambye nti nkolere wamu n’abakozi be okutuusa lwe balimala eby’okukungula bye.” |
7269 | 1SA 2:27 | Awo ne wabaawo omusajja wa Katonda eyajja eri Eri, n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Sseeraga bulungi eri ennyumba ya jjajjaawo mu Misiri bwe baali bafugibwa Falaawo? |
7423 | 1SA 10:3 | “Bw’onoova awo, ne weeyongerayo okutuuka ku mwera gwa Taboli, onoosisinkana abasajja basatu abanaaba bagenda okusisinkana Katonda e Beseri, omu nga yeetisse obubuzi busatu, omulala nga yeetisse emigaati esatu, n’omulala ng’asitudde eccupa y’envinnyo. |
7425 | 1SA 10:5 | “Bw’onoova eyo ogenda ku Lusozi lwa Katonda oluliko ekigo eky’Abafirisuuti. Bw’onooba onootera okutuuka ku kibuga, onoosisinkana ekibiina kya bannabbi nga baserengeta okuva mu kifo ekigulumivu nga bakulembeddwamu abakuba entongooli, n’ebitaasa, n’endere, n’ennanga, era nga bawa obunnabbi. |
7438 | 1SA 10:18 | N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Naggya Isirayiri mu Misiri, ne mbalokola okuva mu mukono gw’Abamisiri, ne mu mukono gw’obwakabaka bwonna obwabajooganga. |
7595 | 1SA 15:33 | Naye Samwiri n’ayogera nti, “Ng’ekitala kyo bwe kyaleetera abakazi abangi obutaba na baana, ne nnyoko talibeera na mwana.” Awo Samwiri n’atemaatema Agagi n’amuttira mu maaso ga Mukama e Girugaali. |
7647 | 1SA 17:27 | Ne bamuddiramu ebigambo bye bimu nti, “Bw’atyo bw’anaakolebwa omuntu anaamutta.” |
7719 | 1SA 19:11 | Sawulo n’atuma ababaka bagende bakuume ennyumba ya Dawudi, bamutte enkeera. Naye Mikali mukyala wa Dawudi n’amulabula n’amugamba nti, “Bw’otodduke kiro kino, bwe bunaakya bajja kukutta.” |
8033 | 2SA 1:8 | “N’ambuuza nti, ‘Ggwe ani?’ “Ne muddamu nti, ‘Ndi Mwamaleki.’ |
8034 | 2SA 1:9 | “N’alyoka aŋŋamba nti, ‘Nnyimirirako onzite! Ndi mu masaŋŋanzira ag’okufa newaakubadde nga ndabika ng’akyalimu obulamu.’ |
8050 | 2SA 1:25 | “Ab’amaanyi nga bagudde wakati mu lutalo! Yonasaani attiddwa ku nsozi zammwe. |
8052 | 2SA 1:27 | “Ab’amaanyi nga bagudde, n’ebyokulwanyisa nga bizikiridde!” |
8074 | 2SA 2:22 | Abuneeri n’addamu okumulabula ng’agamba nti, “Bw’oleka okungoba! Lwaki ondeetera okukutta? Muganda wo Yowaabu nnaamudda wa?” |
8205 | 2SA 7:22 | “Ng’oli mukulu, Ayi Mukama Katonda! Tewali akwenkana, era tewali Katonda wabula ggwe, nga bwe twewuliridde n’amatu gaffe. |
8281 | 2SA 11:19 | n’alagira gwe yatuma nti, “Bw’onoomala okutegeeza kabaka amawulire gonna agafudde mu lutalo, |
8300 | 2SA 12:11 | “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndireeta ekikolimo mu nnyumba yo, ne nzirira bakyala bo ng’olaba ne mbawa muliraanwa wo, ne yeebaka nabo emisana. |
8425 | 2SA 15:33 | Dawudi n’amugamba nti, “Bw’onoogenda nange ojja kunfuukira ekizibu. |
8446 | 2SA 16:17 | Abusaalomu n’abuuza Kusaayi nti, “Bw’otyo bw’olaga okwagala eri mukwano gwo Kabaka Dawudi? Kiki ekyakulobedde okugenda ne mukwano gwo?” |
8506 | 2SA 18:25 | Omukuumi n’ayogerera waggulu n’ategeeza kabaka. Awo kabaka n’amugamba nti, “Bw’aba ng’ali yekka ateekwa okuba ng’aleeta mawulire malungi.” Omusajja n’asembera. |
8772 | 1KI 1:52 | Sulemaani n’addamu nti, “Bw’alyeraga okuba omusajja omulungi, tewaliba luviiri lwe na lumu oluligwa wansi; naye bw’alirabikamu ekibi, alifa.” |
8811 | 1KI 2:38 | Simeeyi n’addamu Kabaka nti, “Ky’oyogedde kirungi. Omuddu wo ajja kukola nga mukama wange kabaka bw’ayogedde.” Awo Simeeyi n’amala ekiseera kiwanvu mu Yerusaalemi. |
9122 | 1KI 11:11 | Mukama kyeyava agamba Sulemaani nti, “Olw’empisa zo, n’obutakuuma ndagaano yange newaakubadde okugondera amateeka gange ge nakulagira, ndikuggyako obwakabaka, ne mbuwa omu ku baddu bo. |
9208 | 1KI 13:21 | N’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka eri omusajja wa Katonda eyava mu Yuda nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ojeemedde ekigambo kya Mukama era tokuumye kiragiro Mukama Katonda kye yakulagidde. |
9368 | 1KI 18:24 | Kale oluvannyuma mukoowoole erinnya lya katonda wammwe, nange nnaakowoola erinnya lya Mukama; anaddamu n’omuliro nga ye Katonda.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Ky’oyogedde kirungi.” |
9413 | 1KI 20:2 | N’atuma ababaka mu kibuga eri Akabu kabaka wa Isirayiri ng’agamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Benikadadi nti, |
9424 | 1KI 20:13 | Mu kiseera ekyo ne wabaawo nnabbi eyajja eri Akabu kabaka wa Isirayiri n’alangirira nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Olaba eggye lino eddene? Nzija kulikuwa mu mukono gwo leero, otegeere nga nze Mukama.’ ” |
9425 | 1KI 20:14 | Akabu n’abuuza nti, “Anakikola atya?” Nnabbi n’addamu nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Abavubuka bo ab’abaduumizi b’amasaza, bajja kukubeera.’ ” Akabu ne yeeyongera okubuuza nti, “Ani anasooka okulumba?” Nnabbi n’addamu nti, “Ggwe.” |
9439 | 1KI 20:28 | Awo omusajja wa Katonda n’asembera, n’agamba kabaka wa Isirayiri nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Olw’okuba Abasuuli balowooza nga Mukama Katonda wa ku nsozi so si Katonda wa mu biwonvu, ndigabula eggye lino eddene mu mukono gwo, otegeere nga nze Mukama.’ ” |
9447 | 1KI 20:36 | Mutabani wa nnabbi n’ayogera nti, “Olw’obutagondera ddoboozi lya Mukama, bw’onooba wakava wano, empologoma eneekutta.” Awo bwe baali kyebajje baawukane, n’asanga empologoma era n’emutta. |
9453 | 1KI 20:42 | N’agamba kabaka nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Otadde omusajja gwe namaliridde okutta. Noolwekyo ggw’ojja okufa mu kifo kye, n’abantu bo bafe mu kifo ky’abantu be.’ ” |
9461 | 1KI 21:7 | Yezeberi mukazi we n’amugamba nti, “Bw’otyo bwe weeyisa nga kabaka wa Isirayiri? Golokoka olye! Ddamu amaanyi. Nzija kukufunira ennimiro ya Nabosi Omuyezuleeri ey’emizabbibu.” |
9494 | 1KI 22:11 | Zeddekiya mutabani wa Kenaana yali yeekoledde amayembe ag’ebyuma, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Olisindikiriza Abasuuli ne gano okutuusa lwe balisaanyizibwawo.’ ” |
9511 | 1KI 22:28 | Mikaaya n’alangirira nti, “Bw’olikomawo emirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze.” Era n’ayongerako nti, “Mugenderere ebigambo byange, mmwe abantu mwenna.” |
9553 | 2KI 1:16 | Eriya n’agamba kabaka nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nsonga ki eyakutwala eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni okulagulwa, mu kifo ky’okulaga eri Katonda wa Isirayiri ne gw’oba weebuuzako?’ Ky’oliva olema okuva ku kitanda ekyo kye weebaseeko, era ojja kufa.” |
9565 | 2KI 2:10 | N’amugamba nti, “Ky’osabye kigambo kizibu, naye bw’onondaba nga ntwalibwa, kale kinaaba nga bw’osabye, naye bw’otondabe tekiibe bwe kityo.” |
9576 | 2KI 2:21 | N’aserengeta ku nsulo ey’amazzi, n’ayiwamu omunnyo, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nnoongosezza amazzi gano era tegakyaddamu kuleeta kufa wadde okufuula ensi obutaba njimu.’ ” |
9596 | 2KI 3:16 | n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Musime ensalosalo mu kiwonvu kino.’ |
9765 | 2KI 9:5 | Bwe yatuuka, n’asanga ng’abaserikale abakulu ab’omu ggye bakuŋŋaanye n’ayogera nti, “Nnina obubaka bwo, ssebo omuduumizi.” Yeeku n’amubuuza nti, “Bw’ani ku ffe ffenna?” N’amuddamu nti, “Bubwo, ggwe omuduumizi.” |
9766 | 2KI 9:6 | Yeeku n’asituka n’ayingira mu nnyumba, nnabbi n’amufukako amafuta, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nkufukako amafuta okuba kabaka w’abantu ba Mukama, Abayisirayiri. |
9772 | 2KI 9:12 | Ne bamugamba nti, “Ekyo si kituufu! Tutegeeze amazima.” Yeeku n’ayogera nti, “Bw’ati bw’aŋŋambye nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti nkufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri.’ ” |
9779 | 2KI 9:19 | Awo kabaka n’atuma eyeebagala embalaasi owookubiri. Bwe yatuuka we baali, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera kabaka nti, ‘Mujja mirembe?’ ” Yeeku n’amuddamu nti, “Emirembe ogifaako ki? Kyuka odde ennyuma wange ongoberere.” |
9827 | 2KI 10:30 | Mukama n’agamba Yeeku nti, “Olw’okukola obulungi n’otuukiriza byonna mu maaso gange, n’okola ennyumba ya Akabu byonna ebyali ku mutima gwange bye nnali nteeseteese okukola, bazzukulu bo kyebaliva batuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Isirayiri okutuusa ku muzzukulu owa nnakana.” |
10068 | 2KI 19:3 | Ne bamugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Keezeekiya nti Leero lunaku lwa buyinike, era lwa kunenyezebwa, era lwa kuswazibwa, ng’abaana bwe batuuka okuzaalibwa, naye ne wataba maanyi ga ku bazaala. |
10085 | 2KI 19:20 | Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’aweereza Keezeekiya obubaka nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mpulidde okusaba kwo ku bikwata ku Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli. |
10103 | 2KI 20:1 | Mu biro ebyo Keezeekiya n’alwala n’abulako katono okufa. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’agenda gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Teekateeka ennyumba yo, kubanga ogenda kufa so togenda kuwona.” |
10134 | 2KI 21:11 | nti, “Olw’emizizo gino Manase kabaka wa Yuda gy’akoze, ng’ayonoona okusinga Abamoli abaamusooka bye baakola, n’ayonoonyesa Yuda n’ebifaananyi bye, |
10164 | 2KI 22:15 | N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, |
10744 | 1CH 12:20 | Abasajja abamu ab’ekika kya Manase ne badda ku ludda lwa Dawudi, bwe yagenda n’Abafirisuuti okutabaala Sawulo newaakubadde nga ye n’abasajja be tebayamba Abafirisuuti kubanga oluvannyuma lw’okwetesaganyaamu, abakungu b’Abafirisuuti baamugoba. Baagamba nti, “Bw’anadda ku ludda lwa mukama we Sawulo, tunaagwa mu katyabaga.” |
10870 | 1CH 17:2 | Nasani n’addamu Dawudi nti, “Ky’olowooza kyonna mu mutima gwo kikole, kubanga Katonda ali wamu naawe.” |
10950 | 1CH 21:11 | Awo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Weerobozeeko ku bisatu: |
11013 | 1CH 23:25 | Dawudi yali agambye nti, “Olw’okuba Mukama Katonda wa Isirayiri, awadde abantu be emirembe, era abeera mu Yerusaalemi emirembe gyonna, |
11346 | 2CH 7:17 | “Bw’onootambuliranga mu maaso gange nga Dawudi kitaawo bwe yakola, n’okola bye nkulagira byonna, n’okuuma ebiragiro byange n’amateeka gange, |
11407 | 2CH 10:7 | Ne bamugamba nti, “Bw’onooba ow’ekisa eri abantu bano, n’obasanyusa, n’obaddamu bulungi, banaabeeranga baddu bo ennaku zonna.” |
11447 | 2CH 12:5 | Awo Semaaya nnabbi n’agenda eri Lekobowaamu n’eri abakulembeze ba Yuda abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemi olw’okutya Sisaki, n’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Mwanvaako, nange kyenvudde mbawaayo mu mukono gwa Sisaki.’ ” |
11521 | 2CH 16:7 | Mu biro ebyo Kanani omulabi n’ajja eri Asa kabaka wa Yuda, n’amugamba nti, “Olw’okwesiga kabaka w’e Busuuli mu kifo ky’okwesiga Mukama Katonda wo, eggye lya kabaka w’e Bwasuli kyelivudde likuddukako. |
11550 | 2CH 18:3 | Akabu kabaka wa Isirayiri n’abuuza Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Onoogenda nange okulumba Lamosugireyaadi?” Yekosafaati n’addamu nti, “Ky’oli kye ndi, era n’abantu bo be bantu bange, tujja kukwegattako mu lutalo.” |
11557 | 2CH 18:10 | Zeddekiya mutabani wa Kenaana yali yeeweesereza amayembe ag’ekyuma, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Abasuuli balitomerwa na gano okutuusa lwe balimalibwawo.’ ” |
11574 | 2CH 18:27 | Awo Mikaaya n’alangirira nti, “Bw’olikomawo mirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze,” ate n’ayongerako na kino nti, “Mmwe mwenna, mwekuume ebigambo byange.” |
11641 | 2CH 21:12 | Yekolaamu n’afuna ebbaluwa okuva eri Eriya nnabbi ng’egamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti, ‘Olw’obutatambulira mu makubo ga kitaawo Yekosafaati, wadde mu makubo ga Asa kabaka wa Yuda, |
11702 | 2CH 24:20 | Awo Omwoyo wa Katonda n’akka ku Zekkaliya muzzukulu wa Yekoyaada, n’ayimirira mu maaso g’abantu n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Katonda nti, ‘Lwaki mujeemera amateeka ga Mukama? Temujja kufuna mukisa kukulaakulana. Kubanga muvudde ku Mukama naye kyavudde abaleka.’ ” |
11890 | 2CH 32:10 | “Bw’ati bw’ayogera Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mwesiga ki okusigala mu Yerusaalemi nga kizingiziddwa? |
11961 | 2CH 34:23 | N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Mutegeeze omusajja abatumye nti, |
12021 | 2CH 36:23 | “Bw’atyo bw’ayogera Kuulo kabaka wa Buperusi nti, “ ‘Mukama Katonda w’eggulu ampadde obwakabaka bwonna obw’omu nsi, era annonze okumuzimbira yeekaalu e Yerusaalemi mu Yuda. Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe ow’oku bantu be, Mukama Katonda abeere naye, ayambuke.’ ” |