Wildebeest analysis examples for:   lug-lug   Word’Word’Word,    February 11, 2023 at 19:01    Script wb_pprint_html.py   by Ulf Hermjakob

206  GEN 8:22  “Ensi ng’ekyaliwo, okusiga n’amakungula, obunnyogovu n’ebbugumu, ebiseera eby’omusana n’eby’obutiti, emisana n’ekiro, tebiggwengawo.”
868  GEN 30:37  Awo Yakobo n’addira obuti bw’omulibine omubisi, n’obw’omusakedi, n’obw’omwalamoni n’abususumbulako ebikuta mu bukuubo.
1873  EXO 13:5  Mukama bw’alimala okubatuusa mu nsi y’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli; n’ey’Abakiivi, n’Abayebusi, ensi gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, mukwatanga omukolo guno mu mwezi guno.
2408  EXO 30:25  Bino byonna obikolemu amafuta amatukuvu ag’okusiiga, nga bigattikibbwa bulungi ng’ebikoleddwa omutabuzi w’eby’akawoowo, ne galyoka gabeera amafuta amatukuvu ag’okufukibwangako.
2893  LEV 7:13  Awamu n’ebiweebwayo bye olw’emirembe n’olw’okwebaza, anaaleeterangako emigaati emifumbe n’ekizimbulukusa.
3297  LEV 19:15  “Tosalirizanga ng’olamula; tobanga na kyekubiira ku ludda lw’omwavu wadde okwekubiira ku ludda lw’ow’ekitiibwa, banno obasalirangawo mu bwenkanya.
4263  NUM 18:5  “Mmwe munaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’emirimu gyonna egy’awatukuvu n’egy’Ekyoto, olwo obusungu buleme kuddamu kubuubuukiranga ku baana ba Isirayiri.
4713  NUM 31:47  Ekitundu eky’omugabo eky’abaana ba Isirayiri, Musa n’aggyako ekitundu kimu ku buli bitundu ataano byombi eby’abantu n’eby’ebisolo, n’abiwa Abaleevi abaalabiriranga Weema ya Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa.
4901  DEU 1:7  kale musitule mukyuke, mutambule nga mwolekera ensi ey’ensozi ey’Abamoli, ne mu baliraanwa baabwe yonna mu Alaba, mu nsozi, ne mu bisenyi, ne mu Negebu, ne ku lubalama lw’ennyanja, ne mu nsi ya Bakanani n’ey’Abalebanooni, okutuukira ddala ku mugga omunene, Omugga Fulaati.
5132  DEU 7:19  Weerabirako n’amaaso go gennyini ebibonoobono, n’obubonero obw’ebyamagero, n’eby’ekyewuunyo, Mukama bye yakozesa okukuggya mu nsi y’e Misiri n’omukono gwe omuwanvu ogw’amaanyi. Mukama Katonda wo bw’atyo bw’anaakolanga amawanga ago gonna g’otya.
5315  DEU 14:23  Onoolyanga ekitundu eky’ekkumi eky’emmere y’empeke, n’ekya wayini omusu, n’eky’amafuta, n’eky’ebibereberye eby’ebisibo byo n’eby’amagana go. Onookiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky’anaabanga yeerondedde eky’okubeerangamu Erinnya lye, olyokenga oyige okutyanga Mukama Katonda wo bulijjo.
5535  DEU 24:8  Bwe wanaagwangawo obulwadde obw’olususu ng’obw’ebigenge, weegenderezanga nnyo, n’ogonderanga ebyo Abaleevi, bakabona, bye banaabalagiranga okukola, nga bwe mbalagidde.
7385  1SA 8:14  Alitwala ennimiro zammwe ennungi, n’ennimiro zammwe ez’emizabbibu n’ez’emizeeyituuni, n’aziwa abaweereza be.
7972  1SA 29:2  Abakulembeze b’Abafirisuuti bwe baali nga bakumba n’ebibinja byabwe eby’ebikumi n’eby’enkumi, Dawudi n’abasajja be ne babagoberera nga babavaako emabega wamu ne Akisi.
8505  2SA 18:24  Awo Dawudi yali atudde wakati w’emiryango ebiri ogw’omunda n’ogw’ebweru, omukuumi n’alinnya waggulu ku wankaaki ku bbugwe. Bwe yayimusa amaaso ge n’alengera omusajja ng’ajja adduka yekka.
8639  2SA 22:34  Ebigere byange abifuula okuba ng’eby’ennangaazi, era ampanirira mu bifo ebya waggulu.
8702  2SA 24:7  Ne bagenda ku kigo eky’e Ttuulo ne mu bibuga byonna eby’Abakiivi n’eby’Abakanani, ne bakomekkereza omulimu gwabwe e Beeruseba mu bukiikaddyo obwa Yuda.
8966  1KI 7:29  Ku nkulukumbi wakati mu myango mwalimu ebifaananyi bya bakerubi n’eby’empologoma, n’eby’ente ennume; kwaliko n’ebintu ebireebeeta ebyakolebwa n’emikono.
8973  1KI 7:36  Ku biwanirira ne ku nkulukumbi, Kiramu yakolako ebifaananyi ebyole ebya bakerubi, n’eby’empologoma, n’eby’enkindu mu buli kifo omwali ebbanga, era n’ayolako ebimuli okwetooloola.
9052  1KI 8:64  Ku lunaku olwo Kabaka kwe yatukuliza oluggya olwa wakati mu maaso ga yeekaalu ya Mukama, era eyo n’aweerayo ebiweebwayo ebyokebwa, n’eby’obutta, n’amasavu g’ebiweebwayo olw’emirembe, kubanga ekyoto eky’ekikomo mu maaso ga Mukama kyali kitono nnyo okugyaako ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’obutta, n’amasavu g’ebiweebwayo olw’emirembe.
9097  1KI 10:15  nga tobaliddeeko musolo ogwawebwangayo abasuubuzi n’ab’ebyamaguzi, ate era n’ogwasoloozebwanga okuva ku bakabaka Abawalabu bonna ne bagavana.
9846  2KI 11:13  Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw’abakuumi n’olw’abantu, n’alaga eri abantu ku yeekaalu ya Mukama.
10004  2KI 17:17  Ne bawaayo abaana baabwe aboobulenzi n’aboobuwala ng’ebiweebwayo mu muliro, ne bakola eby’obufumu n’eby’obulogo, ne beetunda okukola ebibi mu maaso ga Mukama, okumusunguwaza.
10129  2KI 21:6  N’awaayo mutabani we okuba ekyokebwa, ng’akola eby’obufumu n’eby’obulogo, ate ng’alagulwa n’abaliko emizimu, n’abalogo. N’akola ebibi bingi mu maaso ga Mukama, era n’amusunguwaza.
10563  1CH 7:24  Ne muwala we yali Sera, era oyo yazimba Besukoloni ekya eky’emmanga n’eky’engulu, ne Uzzemmuseera.
11139  1CH 27:25  Azumavesi mutabani wa Adyeri yavunaanyizibwanga amawanika ga kabaka, ne Yonasaani mutabani wa Uzziya n’avunaanyizibwanga amawanika ag’amasaza n’ag’ebibuga, ag’ebyalo, n’ag’ebigo.
11175  1CH 29:6  Awo emitwe gy’ennyumba, n’abataka b’ebika bya Isirayiri, n’abaduumizi ab’olukumi n’ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga emirimu gya kabaka, ne beewaayo awatali kuwalirizibwa.
11201  2CH 1:2  Awo Sulemaani n’ayita Isirayiri yonna, n’atumya abaduumizi b’enkumi n’ab’ebikumi, n’abalamuzi, n’abakadde bonna mu Isirayiri yonna, n’abakulembeze b’ennyumba za bajjajjaabwe.
11862  2CH 31:3  Kabaka n’awaayo ku byobugagga bwe ebiweebwayo ebyokebwa eby’enkya n’eby’akawungeezi, n’ebiweebwayo ebyokebwa ebya ssabbiiti, n’eby’emyezi egyakaboneka, n’assaawo n’embaga ezaalagirwa nga bwe kyawandiikibwa mu tteeka lya Mukama.
11864  2CH 31:5  Awo ekiragiro ekyo bwe kyabuna wonna, amangwago Abayisirayiri ne bawaayo ku bibala byabwe ebibereberye bingi eby’eŋŋaano, n’ebya wayini omusu, n’eby’amafuta, n’eby’omubisi gw’enjuki ne ku ebyo byonna ebyava mu nnimiro. Ne baleeta bingi nnyo, ekitundu eky’ekkumi ku buli kintu.
11929  2CH 33:16  N’addaabiriza ekyoto kya Mukama, n’aweerayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe n’ez’okwebaza, n’alagira Yuda okuweerezanga Mukama Katonda wa Isirayiri.
12398  NEH 5:11  Mubaddize leero ebibanja byabwe, n’ennimiro zaabwe ez’emizabbibu, n’ez’emizeeyituuni, n’ennyumba zaabwe, ne ku misolo gye mu bawooza, mubaddize kimu kya kikumi ku nsimbi, ne ku mmere ey’empeke ne ku wayini omuggya ne ku mafuta.”
12512  NEH 8:15  era nga kibagwanidde okubunyisa amawulire ago n’okulangirira mu bibuga byabwe byonna ne mu Yerusaalemi, nga boogera nti, “Mugende mu nsozi mukuŋŋaanye amatabi ag’emizeeyituuni n’ago ag’emizeeyituuni egy’omu nsiko, n’ag’emikadasi, n’ag’enkindu, n’ag’emiti emirala egirina ebikoola ebingi okuzimba weema nga bwe kyawandiikibwa.”
12857  EST 9:19  Abayudaaya ab’omu byalo abaabeeranga mu bibuga ebitaaliiko bbugwe kyebaava bafuula olunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi Adali okuba olunaku okuliirangako embaga n’olw’okusanyukirangako, era olunaku olw’okuweerazaganirako ebirabo.
13613  JOB 31:21  obanga nayimusa omukono gwange eri abatalina bakitaabwe, kubanga mmanyi nti, mmanyiganye n’ab’obuyinza,
14164  PSA 18:34  Ebigere byange abinyweza ng’eby’empeewo, n’ansobozesa okuyimirira ku ntikko z’ensozi.
15308  PSA 83:7  Abantu b’omu weema za Edomu, n’ez’Abayisimayiri, n’eza Mowaabu, n’Abakagale;
16902  PRO 15:25  Mukama azikiriza ennyumba y’ab’amalala, kyokka akuuma ensalo za nnamwandu.
16916  PRO 16:6  Olw’okwagala n’olw’obwesigwa, ekibi kisasulibwa, n’okutya Mukama kuleetera omuntu okwewala okukola ebibi.
18050  ISA 16:11  Omutima gwange kyeguva gukaabira Mowaabu mu ddoboozi ng’ery’ennanga, emmeeme yange munda n’ekaabira Kirukeresi.
18069  ISA 18:2  etuma ababaka ne bagendera mu maato ag’ebitoogo ku nnyanja. Mugende mmwe ababaka abangu, eri abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu, eri abantu abatiibwa abeewala n’ab’okumpi, eggwanga ery’amaanyi eryogera olulimi olutamanyiddwa, ensi eyawulwamu emigga.
19613  JER 25:10  Ndibagobako eddoboozi ery’essanyu era n’okujaguza, eddoboozi ery’awasa omugole n’ery’omugole, eddoboozi ly’olubengo n’okwaka kw’ettaala.
19629  JER 25:26  n’abo bonna bakabaka ab’omu bukiikakkono, abeewala, n’ab’okumpi, omu ku omu, obwakabaka bwonna obuli ku nsi. Oluvannyuma lwabo kabaka w’e Sesaki naye balikinywa.
19662  JER 26:21  Wabula kabaka Yekoyakimu n’abakungu be bonna n’abasajja be n’ab’obuyinza, bwe baawulira ebigambo bye, kabaka n’amunoonya okumutta, naye Uliya bwe yakiwulira n’atya n’addukira e Misiri.
19821  JER 32:21  Waggya abantu bo Isirayiri mu Misiri n’obubonero n’eby’amagero, n’omukono gwo ogw’amaanyi gwe wagolola n’entiisa ey’amaanyi.
20745  EZK 11:21  Naye abo abanaagoberera ebitali bya butuukirivu n’eby’emizizo, ndibaleetako ebyo bye baakola ku mitwe gyabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.”
21947  DAN 5:4  Ne banywa omwenge ne batandika okutendereza bakatonda aba zaabu n’aba ffeeza, n’ab’ebikomo, n’ab’ekyuma, n’ab’emiti n’ab’amayinja.
21966  DAN 5:23  Weegulumizizza eri Mukama w’eggulu; ebikompe ebyaggyibwa mu yeekaalu ye, obitumizzaayo; era ggwe, n’abakungu bo, n’abakyala bo, n’abazaana bo mubinywereddemu omwenge, n’oluvannyuma ne mutandika okutendereza bakatonda aba ffeeza, n’aba zaabu, n’ab’ebikomo, n’ab’ebyuma, n’ab’emiti, n’ab’amayinja abatayinza kulaba newaakubadde okuwulira newaakubadde okutegeera. Naye Katonda oyo alina omukka gwo mu ngalo ze, era amanyi engeri zo zonna, tomugulumizizza.
22010  DAN 7:8  “Awo bwe nnali nga nkyalowooza ku mayembe, ne walabika mu maaso gange ejjembe eddala, ettono, eryava mu ago; n’amayembe asatu ku ago ag’olubereberye ne gasimbulirwa ddala. Ejjembe eryo lyalina amaaso ng’ag’omuntu, n’akamwa akaayogeranga eby’okwegulumiza.
22062  DAN 9:5  twonoonye era tusobezza, tukoze eby’ekyejo n’eby’obujeemu, era
22366  JOL 1:6  Eggwanga lirumbye ensi yange, ery’amaanyi ennyo era ery’abantu abatabalika. Amannyo gaalyo gali ng’ag’empologoma, n’amasongezo gaalyo ng’ag’empologoma enkazi.
22664  MIC 1:16  Mukungubage, n’emitwe mugimwe olw’abaana bammwe be mwesiimisa; mumwe enviiri zammwe nga mukungubaga, emitwe gyammwe gibe ng’egy’ensega, kubanga abaana bammwe balibaggyibwako ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse.
22856  HAB 3:19  Mukama Katonda, ge maanyi gange; afuula ebigere byange okuba ng’eby’empeewo, era ansobozesa okutambulira mu bifo ebigulumivu. Ya Mukulu wa Bayimbi, ku bivuga byange ebirina enkoba.
22943  HAG 2:19  Wakyaliwo ensigo eyasigala mu tterekero? Mulabe, emiti gino egimenyeddwa, ogw’omuzabbibu n’ogw’omutiini, n’ogw’omukomamawanga, n’ogw’omuzeeyituuni tegibalangako bibala. “ ‘Naye okuva ne leero ndibawa omukisa.’ ”
23064  ZEC 8:19  Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Okusiiba omwezi ogwokuna, n’ogwokutaano, n’ogw’omusanvu, n’ogw’ekkumi kunaabeeranga mbaga ey’essanyu era n’okwesiima mu nnyumba ya Yuda. Noolwekyo mwagalenga amazima n’emirembe.”
23323  MAT 5:20  Naye mbalabula nti Okuggyako ng’obutuukirivu bwammwe businga obw’Abafalisaayo n’obw’abawandiisi, temuliyingira mu bwakabaka bwa mu ggulu.”
25920  LUK 21:25  “Walibaawo obubonero ku njuba, ne ku mwezi, ne ku mmunyeenye. Wano ku nsi amawanga galibeera mu kunyolwa, olw’ab’amawanga, ng’abantu basamaaliridde olw’ennyanja eziyira n’amayengo ageesiikuula.
26803  JHN 16:8  Ye bw’alijja, alirumiriza ensi olw’ekibi, n’olw’obutuukirivu n’olw’omusango,
26806  JHN 16:11  n’olw’omusango, kubanga omufuzi w’ensi eno asaliddwa omusango.
28021  ROM 1:23  ne bawanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okukifaananyiriza ekifaananyi ky’omuntu aggwaawo, n’eky’ebinyonyi, n’eky’ebirina amagulu ana n’eky’ebyewalula.
28031  ROM 2:1  Gwe anenya omuntu omulala, okola ebibi bye bimu ne by’onenyeza omuntu oyo. Kyonoova olema okubeera n’eky’okuwoza, kubanga bw’okola bw’otyo, weesalira wekka omusango.
28390  ROM 15:19  ne mu maanyi ag’obubonero n’eby’amagero, ne mu maanyi ag’Omwoyo wa Katonda. Bwe ntyo okuva e Yerusaalemi n’okwetooloola okutuuka mu Iruliko, mbulidde Enjiri ya Kristo mu bujjuvu.
28479  1CO 3:1  Nange abooluganda ssaasobola kwogera nammwe ng’ab’omwoyo, naye nayogera nammwe ng’ab’omubiri era ng’abaana abawere mu Kristo.
29042  2CO 10:3  Newaakubadde nga tutambulira mu mubiri, tetulwana ng’ab’omubiri,
29177  GAL 3:8  Olw’okuba nga baategeera ebiribaawo n’ekyawandiikibwa, ng’olw’okukkiriza, Katonda aliwa amawanga obutuukirivu, Enjiri kyeyava ebuulirwa Ibulayimu edda nti, “Mu ggwe amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.”
29375  EPH 5:4  Mwewale okwogera eby’ensonyi, n’eby’obusirusiru, n’okubalaata ebitasaana. Mwebazenga bwebaza Katonda.
29416  EPH 6:12  Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, n’ab’obuyinza, n’amaanyi ag’ensi ag’ekizikiza, n’emyoyo emibi egy’omu bifo ebya waggulu.
29595  COL 3:11  Olwo tewaba kwawulamu, Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa n’ataakomolebwa, Omunnaggwanga, n’Omusukusi, omuddu n’ow’eddembe, wabula Kristo ye byonna, era abeera mu ffe ffenna.
29737  2TH 2:9  Omuntu oyo alijjira mu maanyi ga Setaani gonna n’akola obubonero n’eby’amagero, eby’obulimba,
29914  2TI 2:20  Mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na ffeeza byokka, naye mubaamu n’eby’emiti, era n’eby’ebbumba. Ebimu bikozesebwa emirimu egy’ekitiibwa, n’ebirala egitali gya kitiibwa.
29991  TIT 3:1  Ebintu ebyo bijjukizenga abafuzi n’ab’obuyinza, babiwulirenga, era babigonderenga, era babenga beetegefu okukola buli mulimu omulungi.
30191  HEB 9:19  Kubanga Musa bwe yamala okuwa abantu bonna Amateeka, n’atwala omusaayi gwa zisseddume n’ogw’embuzi, n’amazzi, n’addira obutabi obw’akawoowo obwa ezobu, n’ebyoya by’endiga ebiriko omusaayi, n’amansira ku kitabo kyennyini era ne ku bantu.
30775  REV 1:10  Nnali mu mwoyo ku lunaku lwa Mukama waffe, ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka emabega wange, eryavuga ng’ery’akagombe,
30843  REV 4:7  Ekisooka ku biramu bino kyali ng’empologoma, ekyokubiri nga kifaanana ng’ennyana, n’ekyokusatu kyalina amaaso ng’ag’omuntu, n’ekyokuna kyali ng’empungu, ebuuka.
30876  REV 6:15  Bakabaka b’ensi, n’abafuzi ab’oku ntikko n’abantu abagagga, n’abakulu b’amaggye n’ab’amaanyi, na buli muddu n’ow’eddembe, ne beekweka mu mpuku ne mu njazi z’ensozi.
30917  REV 9:9  Zaali zambadde eby’omu bifuba ebiri ng’eby’ebyuma, nga n’ebiwaawaatiro byazo biwuluguma ng’eddoboozi lya nnamuziga w’amagaali, ag’embalaasi ennyingi nga zifubutuka okulaga mu lutalo.
30925  REV 9:17  Ne ndaba mu kwolesebwa, ng’embalaasi n’abaali bazeebagadde nga bambadde eby’omu bifuba ebimyufu, era mwalimu n’abambadde ebya bbululu n’ebya kyenvu. Emitwe gy’embalaasi gyali gifaanana ng’egy’empologoma, ne mu bumwa bwazo ne muvaamu omuliro n’omukka ne salufa.
30928  REV 9:20  Naye era abantu abaasigalawo nga balamu oluvannyuma lw’ebibonoobono bino ne bagaana okwenenya ebikolwa byabwe. Ne batalekaayo kusinza baddayimooni n’ebifaananyi ebyakolebwa n’emikono ebya zaabu n’ebya ffeeza, n’eby’ebikomo, n’eby’amayinja n’omuti, ebitalaba yadde okuwulira so n’okutambula tebitambula.
30979  REV 13:2  Ekisolo ekyo kye nalaba kyali kifaanana ng’engo naye ng’ebigere byakyo biri ng’eby’eddubu, kyokka ng’akamwa kaakyo kali ng’ak’empologoma. Ogusota ne guwa ekisolo ekyo amaanyi gaagwo awamu n’entebe yaakyo ey’obufuzi era n’obuyinza bungi.
31036  REV 16:13  Ne ndaba emyoyo egitali mirongoofu esatu nga gifaanana ng’ebikere nga giva mu kamwa k’ogusota, n’ak’ekisolo, n’aka nnabbi ow’obulimba.
31055  REV 17:11  Ekisolo ekyaliwo, kaakano nga tekikyaliwo, ky’eky’omunaana, kyokka kiri nga biri omusanvu; era nakyo kirizikirizibwa.
31104  REV 19:18  mulye ennyama y’emirambo gya bakabaka, abakulu b’amaggye n’abasajja ab’amaanyi, n’egy’embalaasi n’egy’abo abazeebagala, era n’egy’abantu bonna abaddu n’ab’eddembe, abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa.”