Wildebeest analysis examples for:   lug-lug   ’    February 11, 2023 at 19:01    Script wb_pprint_html.py   by Ulf Hermjakob

1715  EXO 7:29  Ebikere birikuwalampa ne bikutambulirako ne ku bakungu bo bonna ne ku bantu bo.”
4045  NUM 11:20  naye kumala mwezi mulambirira, okutuusa lw’erifulumira mu nnyindo zammwe n’ebanyiwa, kubanga mwesamudde Mukama Katonda abeera mu mmwe, ne mumukaabirira nga mugamba nti, “Mu Misiri twaviirayo ki?”
6050  JOS 9:11  Abakulembeze n’abantu b’ewaffe bonna beebaatugamba nti, ‘Mwesibire entanda mugende musisinkane Abayisirayiri mubagambe nti, “Ffe tuli baddu bammwe kale tukole nammwe endagaano.”
6456  JOS 22:28  Kyetwava tugamba nti, ‘Bwe balitugamba batyo oba okugamba abaana baffe abaliddawo, tulibaddamu nti, “Mulabe ekifaananyi kye kyoto kya Mukama Katonda, bakitaffe kye baakola, si lwa biweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka, naye okubeera omujulirwa wakati waffe nammwe.”
7278  1SA 2:36  Era buli aliba asigaddewo ku b’omu nnyumba yo alijja n’amuvuunamira ng’amusaba ekitundu kya ffeeza n’omugaati ng’ayogera nti, “Nkwegayiridde nnonda okuba omu ku bakabona, nsobole okufuna ekyokulya.”
7422  1SA 10:2  Bw’onoova wano leero, onoosisinkana abasajja babiri okumpi n’amalaalo ga Laakeeri, e Zereza ku nsalo ya Benyamini, banaakugamba nti, ‘Endogoyi ze wagenda okunoonya zaalabise. Kitaawo kaakano takyalowooza ku ndogoyi, naye, yeeraliikirira ggwe, nga yeebuuza nti, “Ebya mutabani wange mbikole ntya?”
8190  2SA 7:7  Mu bifo byonna bye ntambudde n’Abayisirayiri bonna, nnina ekigambo n’ekimu kye nagamba abafuzi baabwe be nalagira okukulembera abantu bange, Isirayiri nti, “Kiki ekibalobedde okunzimbira ennyumba ey’emivule?”
8199  2SA 7:16  Ennyumba yo n’obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso gange, era entebe yo ey’obwakabaka erinywezebwa ennaku zonna.”
9165  1KI 12:11  Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze ndyongera ku kikoligo kyammwe. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze nnaabakangavvulanga n’enjaba ez’obusagwa.”
10874  1CH 17:6  Mu bifo byonna bye ntambuddemu ne Isirayiri yenna, nnina kye nnali ŋŋambye omulamuzi wa Isirayiri, kw’abo be nalagira okukulembera abantu bange nti, “Kiki ekibalobedde, okunzimbira ennyumba ey’emivule?”
11963  2CH 34:25  Kubanga banvuddeko ne bookera bakatonda abalala obubaane, era bansunguwazizza n’emirimu gyonna egy’emikono gyabwe. Kyennaava mbasunguwalira ne wataba n’omu akkakkanya busungu bwange.”
11966  2CH 34:28  Laba, ndikukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo, n’ofa mirembe, era amaaso go tegalirega ku kabi ke ndireeta ku kifo kino ne ku bantu baamu.”” Ne bazaayo obubaka eri kabaka.
19676  JER 27:11  Naye singa eggwanga lirikutamya ensingo yaalyo wansi w’ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni limuweereze, nzija kuleka eggwanga eryo lisigale mu nsi yaalyo, okugirima, n’okugibeeramu, bw’ayogera Mukama.”
20793  EZK 13:16  abo bannabbi ba Isirayiri abaayogera eby’obunnabbi eri Yerusaalemi ne balabikirwa okwolesebwa ow’emirembe gye bali, ate nga tewaaliwo mirembe, bw’ayogera Mukama Katonda.”
21507  EZK 38:13  Seeba ne Dedani n’abasuubuzi ab’e Talusiisi n’ab’ebyalo bye bonna balibabuuza nti, “Muzze kunyaga? Mukuŋŋaanyizza ebibinja byammwe mutunyage, mutwale effeeza yaffe ne zaabu yaffe, n’ebisolo byaffe n’ebintu byaffe ebirala, mutwale omunyago omunene?”
23985  MAT 22:44  “ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti: “Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo ne mbassa wansi w’ebigere byo?”
24778  MRK 12:36  Kubanga Mwoyo Mutukuvu bwe yali ali ku Dawudi, Dawudi yennyini yagamba ku bwa Mwoyo Mutukuvu nti, “ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti, “Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe nditeeka abalabe bo wansi w’ebigere byo.”
25547  LUK 12:19  Era nzija kugamba emmeeme yange nti, “Emmeeme, weeterekedde bingi mu mawanika go okukuyisa mu myaka mingi egijja. Wummula, olye, onywe era weesanyuse!”
26034  LUK 23:30  “ ‘Baligamba ensozi nti, “Mutugweko,” n’obusozi nti, “Mutuziike.”
27053  ACT 2:35  okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.”